Site icon Jalada Africa

Mandela ajja eri Leah

Luganda

Namugambe Sylivia Anna

N’agamba ‘nedda’, eddembe teririiko bukwakkulizo’

Empingu nga bwe ziruma kaawonawo w’ekkomera lya Robben

N’agamba ‘nedda’, ‘okumanya tekusossola’-

Omukyala omuzira ow’e Pakistan yatunula nga akoseddwa naye nga tatidde.

N’agamba ‘nedda’, ‘okukkiriza tekukakibwa’-

Mu ddoboozi erikkakamu naye nga lya bujeemu e Dapchi,

Omumuli gwe negumulisa empuku ya bannalukalala

Era gyebuva nebugenda eddoboozi ery’obuyinza liddingana-

Omumuli gwa Mandela , Malala, Leah Sharibu

Puromentewo lubaale w’omuliro n’agamba ‘nedda’, ekitangaala eky’amaanyi 

Kifuna omwagaanya  ne kiyakira mu Chibok ne Dapchi, okuddamu okumulisa ensi. 

Read the English translation – Mandela Comes to Leah by Prof. Wole Soyinka 

Exit mobile version