Enkyukakyuka Sinziggu Eyokutambula Nga Abantu Beegolodde, Oba Lwaki Abantu Batambulira Ku Magulu
Luganda
Nakisanze Segawa
Nazzikuno, abantu batambuzanga magulu na mikono ng’ ebitonde ebirala ebitambulira ku magulu n’emikono. Abantu balina obwangu okusukuluma ku wakayima, engo, oba envvubu. Amagulu, n’emikono byabantu byali biliraninganye okusingako bwekyali eri ebitundu byona ebyomubiri: ennyingo zabwo zaali zikwatagana: ebibegabega, amakudde; obukokola , amavivi; obukongovule, ne nyingo zebibatu; ebigere, emikono, nga buli ludda lukomekereza n’ebugere, n’engalo taano, n’enjala ku buli kebigere byarina enfanana mu kwelirana okuva kukigere ekinene n’enamagalo okutuuka ku kagere akatono ne naswi. Ebiseera ebyo namagalo yali eriraniganide ddala engalo endala nga ekigere ekisajja. Amagulu n’emikono byeyita nga byaluganda.
Byeyambanga okutambuza omubiri buli we gwaba gwagala okugenda; ku madduka, okuwalampa emiti n’ensozi, wonna wegwayagalanga okugenda. Ne mu mazzi, byakolagananga okuyamba omubiri okuseyeya, okuwuga n’okubbiira. Byateesanga mu ngeri ya dimokulasiya, era byalina obwenkanya mu nkolagana yabyo. Byeyambisa nga n’obusobozi bw’e bitundu ebilara ebyomubiri, gaamba amalobozi gomumwa, okuwulira kwamatu, okuwunyiriza kwenyindo, n’okulaba kwamaaso.
Enkolagana yabyo etalimu yadde enkenyera yaletera ebituntu ebilara obujja. Era byekkanya nga okwazika obusobozi bwabyo eri ab’oluganda bano. Obujja bwabiziba amaaso, olwokuba nga amagulu, n’emikono byabitambuza nga mu bifo ebyenjawulo.
Olulimu, ne lwewola ondowoza y’obwongo, era ne lugiteeka mu nkola mu bunambiro. Lwatandika okwewunya wa obusobozi bw’amagulu n’emukono gyebuva, era ani yali asinga amanyi. Aboluganda banno, olulimi, n’obwongo, abaali bataafaayo kumanya busobozi bwabwe, na ki kyebaali balina kati nno beewola eddobosi okuva ku mumwa era n’ebatandika okugamba mbu baali ba mugaso eri omubiri okussukuluma ku bitundu ebirara. Kino kyabaletera okwewaana ku ani asinga okusikiriza; emikono gyewaanisa nga engalo zaagyo empanvu, nga ate eno bwe gyirangira ebugere okubeera obumpi nga ate bunene. Obutakiriza kumegebwa, obugere n’ebuzza omuliro, nebunenya engalo okulumya aboluganda. Kino kyamala akabanga, n’olusi okuteteganya obusobozi bwabyo okukola obulungi. Kino kyabaletera okulwanira obuyinza, era ne bibuuza ku bitundu ebirara ku kutabagana.
Lwali lulimi olwateesa okuvuganya. Bonna bakiriza nti endowoza yali nsufu, wabula ki ekyali kigenda okukolebwa? Abamu bateesa kiggo- okuggulu, n’emikono bameggane. Abamu bateesa omuzannyo gwokulwanyisa ebisso, okukyanga ekintu kyonna n’engalo, gaamba obupiira obutono, embiro, oba okuzannya emizannyo nga kyesi oba kyekaazi, naye nga omu talina kweyisa bubi eri omulala. Nga lumazze nera okwewola ekirowoozo okuva ku bwongo, olulimi lwaleeta ekiteeso ekijja okugonjoola ensonga mu bwangu. Buli kitundu ky’omubiri kyali kirina okuletayo ekirowoozo ky’okuvuganya. Emikono n’emagulu nebikiriza.
Okuvugannya kwabaawo mu kibira, kumpi n’omugga nga baalina okukisaawa. Byona ebitundu byali birina okufaayo okukakasa nti omubiri tegutusibwako bulabe bwona. Amaaso galaba nga awali obulabe byona okuva okumpi n’ewala; amattu getegekera okuwulira eddoboozi lyonna okuva okumpi n’ewala; ennyindo yawunnyirizanga olussu lwonna, amaaso gelutasobodde kwetegereza, n’amattu gegataasobodde kwenganga; anti olulimu lwali lwetegeffu okulekanira waggulu obulabe.
Empewo yatambuza amawulire g’okuvuganya kuno mu buli kanyomero k’ekibira, omugga, ne mu bbanga. Ebisolo bye byasooka okukungana. Ebinene bingi nga bisitudde amattabi okulaga nti bijja mu ddembe. Kwali kukungaana kw’Engo, emmondo, empologoma, enkula, empisi, enjovu, entugga, engamiya, ente ezzamayembe amawanvu, n’Embogo, omusonso, n’Emesse. Mu byomu mazzi, envubu, ebyenyanja, gonya, byasasanya amawulire mu mambuka ne mu mabbali g’omugga, nebirekera ekitundu ekirala ekyomugga eri ebirala. Mu bitambuza amagulu abiiri mwalimu; maaya, enkoffu, ennyonyi muzinge, byayanjala ebiwaawaatiro byabyo mu sanyu; ebinyonyi by’ewujjulira nga ku miti; enyanyagizze zaayimba nga buli kadde. Nabbubi, ensiringanyi, eggongolo, kamwaka, ne byavulira ku ttaka oba waggulu ku mitti. Nawoolovu, yatambula mu bubba, mu kwegendereza ng’atwala obudde bwe, ng’eno omunya bwegudda eno neri, nga tegukalira mu kifo kimu. Enkima, enkobe, n’ezzike byabuka okuva ku ttabi limu okudda ku ddala. Era n’emitti, n’ensiko, byewuuba mpola okuva ku ludda olumu okudda ku lulala nga bivvunnama, olwo nebilyooka biyimirira mu mpalo.
Omumwa gwagulawo okuvugannya n’oluyimba.
Kino tukikola kuba basanyuffu
Kino tukikola kuba basanyuffu
Kino tukikola kuba basanyuffu
Kubanga ffena
Tuvva mu butonde bwebumu
Emikono n’amagulu byalayira okukiriza ebinaava mu kuvugannya mu ddembe; awataali kuyomba, kutiisatiisa oba kwabululira, oba okwekalakaasa.
Emikono gyegyasooka okuyisa okuvuganya: gyasuula olukku ku ttaka. Okuggulu kwaali kwakulondawo olukku, kulukasuke; kino okuggulu kwali kwekulina okwesalirawo oba kwali kwa kukozesa kkono, ddyo, oba byombi. Amagulu abiiri gano gaali gasobola okwebuzagannyako obudde bwona mu kuvugannya kuno, era nga gasobola okukozessa obugere mu bumu oba kinoomu, mu ngeri yonna okutukiriza ekirubirirwa. Amagulu, wamu n’obugere, byagezaako okukyusa olukku, okulusindika, byagezaako okukolera awamu, naye byali tebisobola ku lulonda bulungi, anti bwekyatuuka ku kulusetula, ekinene ennyo kyebyasobola kwe ku lusamba okusobola okulusetula akabanga akatono. Bwezalaba kino, engalo zewoola eddobozi okuva ku mumwa, ne ziseka nnyo. Emikono, n’egisimba okuvuganya mu mpaka z’o bwanalulungi, ngabwegyolesa obutono bwagyo, era engalo ne zironda olukku. Zalusuula mu kibira. Emikono gyegombesa abavuganya, n’abalabi. Gyayolesa n’obusobozi obulala: engalo za londa amayinja mu ccere, zayingiza wuzzi mu mpiso; zaakola obigali obitono ennyo okumbulizaako enku ezizitowa; gyakola amafumu ne gigakasuka wala ddala, ebikorwa obugere bwebwaloota ng’obuloosi okukola. Amagulu gatulanga awo ne gewuunya obusobozi bw’emikono. Abalabi, bakuba engalo mukwegombesa emikono, kino kyanyiiza nnyo amagulu. Naye gaali ssi gakunyigirwa mu ttooke bwegatyo newankubadde gaali gatudde ngera manakuwavu, ng’enno obugere bwe bukuba obufanaanyi obwetolodde mu musennyu, nga gagezaako okuyiya engeri gyeganawangulamu okuvuganya kuno.
Essaawa yamagulu n’obugere okuvuggannya yamala n’etuuka. Ekyabyo byagamba kyali kyangu. Emikono gyalina okutambuza omubiri okuva mu kifo kimu okutuuka mu kilala. Engalo zalowooza nga okuvuganya kwemikono bwe kwali kwabussiru. Kino kyaali kinyuma okulaba, anti omubiri gwavunikibwa, nga omutwe guli wansi, amagulu waggulu. Ebibattu byaali ku ttaka; amaaso nga gaziyiziddwa, era nga n’obusobozi bwago okulaba bwali bukoma awo kumpi nnyo; enfuufu yali eyingira enyindo, negiretera okwasimula; amagulu n’ebigere nga biri mu bbanga, abalabi, n’ebalekanira waggulu, era n’ebayimba mungeri ezanyirira.
Nyayo Nyayo juu
Hakuna matata
Fuata Nyayo
Hakuna matata
Turukeni angani
Naye, essira byaliteeka ku mikono. Ebitundu, ebbanga ettono emabegga ebibadde by’oleesa obusobozi obw’ekittalo, byali tebisobola kusetukka yadde akatono. Enta ntono, emikono negitandika okukaaba mu bulumi, nga gizunga, gikankana, era negireka omubiri, neguggwa. Gyawummulamu, neera negigezaako omulundi omulala. Ku luno gyagezaako okugaziya engalo okusobola okugumira ku ttaka, naye namagalo zzoka zezasobola. Gyagezaako enkola endala, naye kino kyaganibwa kubanga okukitukiliza kyaali kyetagisa n’amagulu.
Kaali kaseera ka bugere kuseka. Byewola ku mumwa eddobozi essagya, buleme kuseka nga engalo ezzasese nga enkwaale. Bwegyawulira okunyomebwa, emikono gyanyiga nnyo, era gyagezaako omulundi gumu ogusembayo okutambuza omubiri. Neera tegyasobola kugutambuzako yadde. Mubukoowu, emikono, n’engalo byakivaako. Amagulu gasanyuka nnyo okwolesa obusobozi, n’amanyi gyago. Gaakuma obudde, gadduka, gabuuka, okumpi, n’ewagulu, nga tegalese mubiri kuggwa. Abalabi bakubira ebigere ku ttaka mu kusanyukirako ebigere. Emikono gyawanikibwa okuwakanya akasanyo kano, nga belabidde ekyo kyebatandika.
Naye ebitundu byona, nga ogaseeko n’abalabi, byalina ekintu ekitali kyabuligyo kyebyalaba ku mikono: Namagalo, eyagazziwa nga emikono gigezaako okutambuza omubiri, yasigala eyawukanye ku ngalo zinayo. Ebitundu ebirara nga bwebavuganya byali binatera okuddamu okuseka ante era ne bilaba ekintu ekilala; ekitali ku kulemererwa kwa namagalo okusobozesa e’mikono okukola obulungi, nga kigisobozesa okufuna n’okubeera n’amanyi. Kino kyali ki? Obulemu obwakyusibwa okufuna amanyi!
Olukungana lw’okusalawo wakati w’ebitundu byomubiri, okulonda asinze kwatwala enaku taano, okufananako, n’obungi bwebugere, n’engalo ezziri ku buli ludda olumu olwekigere, n’omukono. Newankubadde byagezaako, byalemelerwa okulangirira omuwanguzi; buli ludda lwasukuluma mwekyo kyerwali lusobola okukola; Tewali lwali luyinza kubawo awatali lune. Awo endowoza y’obukenkufu yabawo: ye e’kikyo omubiri gyegwali, byona byebuuza, era nebikizuula nti omubiri gwali byo byona; buli kimu kyaliwo kulwa kinewakyo. Buli kitundu ky’omubiri kyali kilina okukola obulungi, okusobozesa byona okukola obulungi.
Naye okwewala okuvuganya mu biseera by’omumaaso, n’okwewala okuyingirira obuvunanyizibwa bwebitundu ebirala, kyasalibwawo nti buli kitundu ekiwanirira omubiri kyalina okutambula nga kyegolodde, ebigere nga binywevu ku ttaka n’emikono waggulu mu bbanga. Omubiri gwasanyukira ekyasalwawo, naye kwalina okuleka abaana abaweere okutambuza e’mikono obutelabira nsibuko yabwe. Bagabana obuvunanyizibwa, amagulu galina okutambuza omubiri, naye bwegutuka gyegulaga, emikono nga gikola emirimu gyona egyetagisibwa, nokusitula obutebe. Amagulu mu kusitula ebizito, emikono gyakozesa nga obusobozi bwagyo okukozesa obutonde, okukakasa nti emmere etuuka eri omumwa, amannyo gasobole okugigaya, bwegaba gamaze gagisindike eri omumiro etuuke mu lubuto. Olubuto lusengegye obulungi ebiri mu mmere, lugisindike mu kisaawo kya sebuusa, awo eryoke egabanyizibwe okusasana omubiri gwona. Olwo omubiro gutwale buli kikozeseddwa mu kifo ekya kazambi, eyo evunde mu nimiro oba ezzikibwe mu ttaka ligimuke. Ebimera bikula mangu, nebimera ebibala; emikono ne gibinoga, negibiteeka mu kamwa. Ha, kwekwetolola kwomulamu.
Era, ebyemizannyo, n’ebinnyumo bya gabanyizibwa: okuyimba, okuseka, n’okwogera byalekebwa omumwa; okudduka, okuzannya omupira, byalekebwa maggulu; okuzannya ensero kwalekebwa mikono, okugyako nti amagulu galina okudduka. Bwekijja ku mbiro, amagulu galyawo kumpi buli kanyomero. Okugabana obuvunanyizibwa buno kyawa omubiri amagezi, okussukuluma kubisolo ebinene ku biki byegusobola okukola, mu bungi, n’omutindo.
Wabula, ebitundu byomubiri ne bikizzula nti, entegeka yabyo yali eyinga okuzaala enkayana. Omutwe okubera waggulu, kyandi gulowoozesa nti gwa kitalo okusinga ebigere ebirinya ku ttaka, era nti gwe mukama gwebitundu byona wansi. Bateesa nti bwekijja ku manyi, omutwe, nabuli kimu kyonna wansi wagwo byali byenkanankana. Kino okukitanya, ebitundu ebirala byakakasa nti ekitundu kyona ekyomubiri bwekiba kilumizibwa omutwe nagwo guwulira obwo obulumi. N’ebirabula omumwa nti bwegugamba nti, kino ekyange oba ekyo, kiba kitegeza mubiri gwona naye so si nga gwo kinoomu.
Mu mubiri gwaffe
Temuli mukozzi
Mu mubiri gwaffe
temuli Mukono
buli omu alabirira munne
Ffe ku lwaffe
twewereeza
Ffe Ku lwaffe
Bli omu alabirila munne
Olulimi lw’eddobozzi lyaffe
Mpanirira nange nja ku kuwanirira
Tukuma emibiri gyaffe nga milamu
Mpanirira nange nja ku kuwanirira
Tukuma emibiri gyaffe nga milamu
Obulungi buli mu kwegatta
Awamu tusobola okukola
Ku lwomibiri emiramu
Awamu tusobola okukola
Ku lwomibiri emiramu
Obuumi lye lyanyi
Luno lwe lwafuka oluyimba ly’omubiri gwonna. N’olwaleero omubiri guluyimba era kino kyekiraga enjawulo wakati w’abantu n’ebisolo, oba obyo ebyalwanyissa enkyukanyuka sinzigu oyokutambula nga byegolodde.
Newankubadde byalaba ekyaberawo, ebisolo ebitambuza amagulu ana, byagana enkyukakyuka eno. Emulimu gw’okuyimba gwali tegukola makulu. Omumwa gwakolebwa kulya si kuyimba. Byatondawo ekibina kyobutonde ekya sitakange, era n’ebiremera ku butonde bwabyo obutakyusa mu neyisa yabyo.
Abantu bwebayigira ku nkolagana y’ebitundu by’omubiri, bakola bulungi; naye, bwebiraba omubiri n’omutwe ngabirwanagana, omu nga ali waggulu wa munne, biba byefananyiriza ebisolo ebyagana enkyukakyuka sinziggu.
~
Read the English translation – The Upright Revolution: Or Why Humans Walk Upright by Ngugi wa Thiong’o
Nakisanze Segawa is a Luganda performance poet. Some of her short stories and poetry have been published in, Never Too Late, Summoning The Rains, Boda Boda Anthem, and Are you Caravanning?, an anthology in which Luweero triangle was first published. . Currently, she is working on her first novel.
You must be logged in to post a comment.